Ensuula y'emabega

Okutunuliramu byayita, ebiriwo, ne bijja mu maaso

Ab'oluganda abagalwa ne bannyinaze mu Kristo, abemikwano, mbalamusako n'okwagala kungi n'ekyawandiikibwa okuva mu kitabo ky'Ebikolwa by'abatume 20:26-27,

“Ky'enva mbategeeza leero nti nze ndi mulongoofu olw'omusaayi gwa bonna, sseekekanga kubabuulira kuteesa kwa Katonda kwonna.” 

era ne kyawandiikibwa kino okuva mu Kubikkulirwa 1:4, 

“Ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja …”

Omuntu yenna awandiika ku ntegeeka ya Katonda ey'obulokozi n'obuntu alina okuteekamu ebyayita, ebiriwo era ne birijja. Ebyariwo mu bwakabaka bwa Katonda mu biseera ebyayita ebyeyongera okutuusa ne kaakano ebigenda mu maaso era ku lw'ekyo byeyongera mu maaso nga ebyo ebijja. Abaana ba Katonda ab'amazima abakulemberwa n'omwoyo omutukuvu bulijjo babeera kitundu ku ebyo Katonda byakola mu biseera byabwe. Bateeka ebintu mu butuufu bwa byo ebyo ebyaliwo edda, basoobola okufuna ekifo kyabwe ekituufu mu ntegeeka ey'obulokozi mu biseera byabwe, era ne bateekebwa ddala nga bagumivu mu bisuubizo, era nabo balina okutegeera okulambulukufu okw'ebyo ebiribeerawo mu biseera ebijja.

Ekyokulabirako, abo abayaniriza Yokaana Omubatiza nga omuntu eyatumibwa okuva eri Katonda (Yokaana 1:6-7) baali si bakakanyavu mu kukkiriza obuweereza bwa Yesu Kristo. Oyo eyatumibwa okuteekateeka ekkubo yalina omulimo okukyusa emitima gy'abakkiriza ab'endagaano enkadde eri okukkiriza okw'abaana mu ndagaano empya. (Lukka 1:16-17). Abayigiriza n'abafalisaayo beegaanira okubatizibwa ne Yokaana era ne beegaanira okuteesa kwa Katonda (Lukka 7:30). N'olwekyo tebaalina kitundu kyonna ku ebyo Katonda bye yakola okuva ku ntandiikwa y'ekkanisa y'endagaano empya. Baasigalira mu buwangwa bwabwe obw'enzikkiriza. Baali bafiira ddala eyo mu ekyo. Tebaayingira mu bwakabaka bwa Katonda bennyini era ne baziyiza n'abantu okukikola. Eno y'ebadde ensonga okuyita mu kaseera akaayita konna n'abaweereza era nabo abaalowooza okuba mu kwagala kwa Katonda, buli kiseera Katonda bwe yakola ekintu kyonna ku nsi. Bwekityo bwe kiri ne kaakano, era kiribeera bwekiti n'okutuusa ku nkomerero. Okuva lwe baatategeera olunaku lw'okukyala kwa Katonda, baggaanibwa era Mukama yennyini yabalangirirako omusango (Lukka 19:41-44).

 

Ensuula eddako