Ensuula y'emabega

Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi 2017

Okulamusa okuvira ddala ku mutima eri bonna ab'oluganda mu mawanga gonna era ne nnimi mu linnya ery'omuwendo era etukuvu erya Mukama waffe Yesu Kristo ne kyawandiikibwa okuva mu 1Timoseewo 6:14-15:

“Weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo: kw'aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwe, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami …”

Kino kye kimu ku kyawandiikibwa ekisinga omugaso okulaga ekiragiro ekyaweebwa ne Katonda ng'okukomawo kwa Kristo tekunnabaawo. Wano tuli ku kutuukirizibwa okw'omulimu ogwa Katonda okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo, ekirina okukolebwa okusinga ekivume era awatali kuleeka kunenyezebwa kwonna emabega.

Tewaliwo kuyitibwa kwonna awatali kiragiro era tewali kiragiro awatali kuyitibwa.

Kisooboka okukola ekiragiro eky'obwa Katonda? Kituufu, kisooboka n'obuyambi bwa Katonda. Kyawandiikibwa ekikwata ku Nuuwa nti yakola byonna mu mazima nga bwe byamulagirwa ne Katonda (Olubereberye 6:22). Musa ne Alooni bwe b'atyo n'abo bwe bakola byonna nga bwe balagirwa (Okuva 7:6, 10, 20). Eriya n'agamba, “Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa Kigambo kyo.” (1Bassekabaka 18:36).

Nga bwe kiri ku buweereza bwe, Yokaana omubatiza ng'awa ekyokulabirako ku Isaaya 40:3: “N'agamba nti Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti mulunggamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.” (Yokaana 1:23). Mukama yennyini n'ayogera kino ku oyo: “Oyo ye yawandiikwako (Malaki 3:1), Laba ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange.” (Matayo 11:10).

Buli Katonda yennyini bw'aba awadde ebiragiro eby'enjawulo eby'egatira ddala ku ntegeka ey'obulokozi, awo n'alyoka akuwa ekisa era n'amanyi biryoke bikolebwe mu mazima.

Pawulo yamuwako obujulizi: “Kale … saalema kugondera okwolesebwa okw'omu ggulu … Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja …” (Ebikolwa by'abatume 26:19+22).

Ekigambo “nga soogera kigambo” kyamugaso nnyo, kubanga okuva ku lunyiriri olusooka mu ndagaano empya, eyogera ku kutuukirizibwa kw'obunnabbi bwonna era n'ebisuubizo eby'endagaano enkadde. Oluvannyuma lw'okuzuukira kwe okw'ekitiibwa, Mukama waffe yakigumiza: “N'abagamba nti bino bye bigambo bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyawandiikirwa nze mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu Zabbuli.” (Luka 24:44).

Kaakano mu biseera byaffe, ebintu byonna ebyayogerwa ku biseera ng'okukomawo kwa Kristo tekunnabaawo kulina okutuukirizibwa, nga mw'otwalidde ekisuubizo Katonda kye yawa mu Malaki 4:4-6: “Laba, ndibatumira Eriya nnabbi …” oLuvannyuma lw'obuweereza bwa Yokaana omubatiza, Mukama yakigumiza mu Matayo 17:11 ne Makko 9:12 nti ekisuubizo kino kyali kiri kumpi okutuukirizibwa: “N'addamu n'agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna.” Era bw'ekityo kyalabikira mu buweereza obulungi obwa William Branham. Yaleeta obubaka bwennyini obulongoofu, obw'ali bwesigamye ku Baibuli yokka, eri abantu ba Katonda, nga bwe kyalangirirwa ku ye okuva mu maanyi g'obutangavu bwa Katonda mu mwezi gw'omukaaga 11, 1933. Era ne kiragiro Mukama kye yamuwa mu mwezi gw'okutaano 7, 1946, eky'okulabirako okubuulira enjiri eri amawanga era nga yalina ekirabo eky'okuwonya, kyali kikolebwa naye ddala.

Bwekityo nange nkoze ekyo Mukama kye yandagira okukola bwe yampita mu buweereza bwe mu mwezi gw'okuna 2, 1962.

Mbuulidde Ekigambo kya Katonda (2 Timoseewo 4:1-5) era ne gaba emmere ey'omwoyo (Matayo 24:45-47), nga bwe n'alagirwa. Mu 1Abakkolinso 4:1-2, Omutume Pawulo yawandiika ku kiragiro ekyamuweebwa: “Omuntu atulowoozenga bw'ati nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda. Era wano kigwanira abawanika, omuntu okulabikanga nga mwesigwa.” kino kaakano kye kiseera ng'okukomawo kwa Kristo tekunnabaawo mu ekyo Ekigambo ekyabikkulwa ekilongoofu, ekijuvu, okuteesa kwonna okwa Katonda we kulangirirwa. Mu Abaefeso 5, Pawulo yawa ebigobererwa mu bikolwa by'obulamu eby'oyo eyanunulwa era n'alaga kiki emirimu gya Kristo eby'obununuzi kye gyimaliriza mu bakkiriza abakkiriza buli njigiriza ey'ekigambo: “Alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu Kigambo …” (Abaefeso 5:26). okuzaalibwa mu Kigambo kya Katonda, n'okutuusa nga tekuli bbala lyonna, tewali kunenyezebwa kusigala kyetagisa nga okusonyiyibwa, okutabagana, era n'okuggyibwako omusango okuyita mu musaayi gwa Kristo (Abaruumi 5:9). Obubaka obusembayo bulinakobeeramu okubuulira, enjigiriza, era ne kitundu eky'obunnabbi. Tebulina kuba na kunenyezebwa mu maaso ga Katonda Mukama asoobole okutuukiriza ebigoberera: “Alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu, eteriiko bulema.” (Abaefeso 5:27). Kituufu, ekiva mu kigambo ky'obubaka obusembayo buliba nti ekkanisa ey'omugole efuuka omugole omulongoofu ow'ekigambo awatali kunenyezebwa.

Mu kusooka, kiri ku kuyitibwa okw'abakkiriza okuva mu mivuyo gy'enzikkiriza gyonna. Kiragiro kya Mukama: “Kale muve wakati w'abo, mweyawule, bw'ayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu …” (2Abakkolinso 6:14-18). Awo ne walyoka wagoberera okutukuzibwa mu kigambo ky'amazima (Yokaana 17:17), bw'atyo Mukama waffe bwe yasabanga: “Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima.” entegeeka ey'olunaku kwe kweteekateeka okw'abakkiriza okutwalibwa mu ggulu nga Yesu akomyewo, “Kw'alirraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami …” (1Timoseewo 6:15). ekiseera kiri kumpi!

“Alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna.” (1Abasessaloniika 3:13).

Pawalo yawandiika: “Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abagaalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku Lubereberye mu kutukuzibwa omwoyo n'okukkiriza amazima …” (2Abasessaloniika 2:13). Amiina.

Ow'oluganda Branham yagamba mu kubuulira kwe mu mwezi gw'ekkumi n'omu 25, 1965, “mmwe balongoofu, obugumivu, omugole atalina kibi ow'omwana wa Katonda omulamu. Buli musajja yenna n'omukazi azaalibwa n'omwoyo wa Katonda, era n'anazibwa mu musaayi gwa Yesu Kristo, era n'akkiriza buli Kigambo kya Katonda, ayimirira ng'atakolangako kibi mu kifo ekyasooka. Otukkiridde okuyita mu musaayi gwa Yesu Kristo …” Amiina.

Ensuula eddako