Ensuula y'emabega

Abakyala n'abami

Kikwetagisa edakika ntono ku kaseerako ak'omuwendo okusoma akatabo kano mu bumpi. Tuli mu kaseera ak'enjawulo era n'omulembe ogw'omugaso. Buli lunaku tufuna amawulire ku bintu bingi ebibeerawo. Amawulire aga yogerwa emyaka kumi egiyise, kye kintu kakaano ky'etulaba mu mawulire buli lunaku. Obutabanguko bw'ensi, enjala, entalo, ebika era “n'obutubagiro mu mawanga” era n'okutta, obw'analukalala obw'enzikkiriza era n'emisango ezilopeddwa mu nsi yonna. Mu nsi y'emu ku lubalama lw'ebugwanjuba waliwo obwaguga bw'ebibira ebikwata omuliro, naye ku kaseera ke k'amu ku lubalama lw'ebuvanjuba waliyo amataba n'omuyaga oguleeka nga gusanyizaawo ebintu bingi emabega. Tewaliwo kiriwo kakaano nga bwe kyali. Buli omu oyagera ebyo okuva obulumbaganyi obwatuuka ku Kifo eky'obusuubuzi obw'ensi yonna mu New York ne Pentagon mu washington mu mwezi gw'omwenda 11, 2001. ku lwa byonna eby'obufuzi, eby'enfuna era n'ebizibu eby'abantu tetulaba kiyinza kuyamba bantu oba mu nsi oba mu mawanga g'ensi yonna.

Mu kitabo kino twagala okukwata kw'ebyo ebigenda mu maaso okusinzira ku Baibuli nga bw'eyogera, nga bwe kisangibwa mu »kigambo ky'obunnabbi«. Tuli kutuuka ku kiseera ky'enkomerero y'ekisa. Emyaka 6,000 ziyise okuva omuntu eyasooka bwe yalaba ekitangala ky'ensi eno. Mu kubaala okugonvu, waaliwo emyaka 2,000 okuva ku Adamu okutuuka ku Ibulayimu, era nate n'okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Kristo emyaka 2,000 era okuva ku kuzaalibwa kwa Kristo tumaze ekiseera ky'emyaka emilala 2,000. Mu ngeri entuufu ekibuuzo kakaano kibuuzibwa, oba nga ekkanisa etali ya myaka kumi oba emyaka lukumi egenda kuleeta ekitabeerangawoko mu byafaayo by'omuntu.

Ebyogerwa ku bino kubadde kw'eyongera okuva ku ntandiikwa y'emyaka lukumi. Abakugu mu lwatu bakkiriza nti ebisuubirwa biragira ddala nga bituuse, okusingira ddala ebikwata ku makati g'ebuvanjuba. Bw'ekityo, waliwo nabo aboogera awatali ku bakugira, nga omusajja omuna Congress mu U.S. bwe yakola. Eya yogera, “Kilabika ffe mulembe ogusooka ogutegeera nti ffe basembayo mu mulembe guno.”waliwo okw'ogera kungi ku »eschatology« era ne ku »apocalyptic inferno« ebisuubirwa okujja ku nsi amangu ennyo. Kakaano ensi yonna ezuukuse era kakaano yelarikiridde ebyo ebijja mu maaso kye binaleeta. Tulina okubuuza abo aboogera nti ebijja ku masomo ag'omugaso bw'egatyo? Tuddeyo emabega ku byayogerwa n'omuwandiisi we bitabo omufalansa ayitibwa Nostradamus oba abalala bannabbi abelonda bennyini ku lw'okuteesa era ne bageezako okunyonyola okutebereza kwabwe? Tubuuze aboogera ku mukisa oba aboogera eby'obwa Katonda? Oba tuyinza okusanga amazima era n'okuddibwamu okw'esigamwako eri ebibuuzo bino byonna mu byawandiikibwa ebitukuvu? Kituufu, tuyinza awatali kubuusabuu, kubanga kyawandiikibwa, “Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng'ettabaaza eyakira mu kifo eky'ekizikiza …” (2Peetero 1:19).

Egulire lyekiseera okuva mu byawandiikibwa ebitukuvu yetagisa ennyo era lirina okusembezebwa era ne lisiimibwa mu mazima eri bonna abagala okumanya ebyo ebigenda okubaawo. Katonda, oyo amanyi byonna, yandiba ku Lubereberye yawandiika ebyafayo n'okutuusa ku nkomerero. Abantu bawandiika ebyafayo wokka nga ebintu bimaze okubeerawo, naye Katonda yawandiika ebyafayo byonna ne »ntegeka ey'obuloko zi« okubeera nga emalirizibwa mu biseera bino n'okutuusa mu butagwaawo era ne ggulu empya era n'ensi bwe liriba. Ebyo ebibaddewo era n'embeera mu bulambulukufu byateekebwa mu byawandiikibwa ebitukuvu. Tebizikka mabega era bijja kubeerawo.

Mu »Kwolesebwa 7000« ekigendererwa ekikulu kwe kuleeta obuwulize bwaffe ku ekyo kyennyini ekigenda okubeerawo mu biseera bitono ebijja mu maaso era n'okulaga e'ngeri y'okwewonya, ng'olunaku olw'emisango olw'entisa terunnatuuka, “Kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna …” (Lukka 21:34-46). mu kw'efaananyiza ku by'enkulankulana ebiriwo kakaano, tuyinza okufuna mu bulambulukufu gye tulaga mu byawandiikibwa ebitukuvu. Era nawo tuyinza okutegeera ebyayogerwako »obubonbero obw'ekiseera« “bwe mutyo nammwe, bwe mulaba ebigambo ebyo byonna mutegeere nti ali kumpi, ku luggi.” (Matayo 24:33). Newakubadde ku lwe myaka 2,000 tewali kikola ekitambula; mu nsi ekyatumibwa buterevu okuva mu ggulu ekirabikka ng'ekibaddewo era abantu bakisanga nga kikalubu nti Katonda alina okuyingira mu byafayo – awatali kubuusabuusa kiri beerawo, kubanga kyayogerwa mu Kigambo kya Katonda.

Ebintu ebitabangawoko n'enkulankulana mu myaka egiyise mu nsi yonna, okusingira ddala ebulaya okuva mu kyukakyuka y'emirembe mu mwezi gw'ekkumi/n'ogwekkumi n'omu 1989, n'abyo byegata ku bunnabbi bwa Baibuli. Mu maaso gaffe gennyini »Bulaya eyagattibwa« bwe kiri kakaano, nga bwe kyateekebwa mu »ndagaano y'abaruumi« mu mwaka 1957. Abaali abalabe mu byafayo bafuuse ab'omukwano. Ebuvanjuba n'ebugwanjuba, abaali tebakkiriziganya mu biseera by'olutalo olw'ebigambo, kakaano bali bumu. Akasitaze akawula Germany nga bwe kiri ne semazinga wa bulaya kakaano tekakyaliwo. Tulaba »Bonna nyumba y'abebulaya«, nga mu ekyo mmwe muli ekisenge kya bonna, ekiyitibwa »Bulaya eyagattibwa«. Okuva mu mwezi gw'olubereberye 1, 2002, abantu abasuka obukadde 300 be bayinza okugula nga bakozesa ensimbi ze zimu, esimbi ya bulaya, mu mawanga kkumi n'abiri ag'enjawulo. Kino kimaliriza ekitundu ekisinga omugaso okw'obwegassi bw'amawanga gonna ag'ebulaya »obwakabaka bw'abaruumi«, mu bwakabaka obuna obw'ensi obusembayo nnabbi Danyeri bwe yalaba mu sula 2 ne 7, nga bwe kyayogerwa mu ndagaano enkadde, ky'ogera olinnya kakaano mu maaso gaffe gennyini. Ge »maanyi« ekyayogerwako mu kubikkulirwa okuva mu »Ennyanja y'abantu b'ebulaya« era n'ensi yonna yewunya ku ekyo. »Bulaya eyagattibwa« nga erifuuka kirimaanyi w'ensi yonna, kulwe bintu nga bissatu eby'enfuna, eby'obufuzi n'ebyenzikkiriza ebyamaanyi. Tetuli kukolagana wokka ne by'obufuzi era n'amaanyi g'enfuna ag'amawanga ganno ga kirimaanyi, naye okusingira ddala ne »akulembera mu nzikkiriza« olwa kino »amaanyi« alina ekifuga mu mikono gye era nga yalagira eky'okukola. Buno »obuyinza obw'omwoyo«, ng'akikikirirwa yafisi ya Papa, ekirina okumanyibwa n'enzikkiriza zonna era n'abakulembeze b'amawanga.

Ng'ensi yonna bwe yalaba okugwa kw'amawanga abiri agaali ga kirimaanyi mu 1989/90, so ne kirimaanyi ow'okubiri USA, agabadde amaanyi mu kufufugaza obwa nalukalala okuva mu mwezi gw'omwenda 11, 2001, yeyongera okusereba mu bwa kirimaanyi bwa yo. Kirimaanyi yokka esigaddewo ye »Bulaya eyagattibwa« Ye nateekawo amateeka agafuga ebyobusuubuzi bw'ensi yonna era n'amawulire g'ensi yonna. Tuyinza okulaba ekiwandiikiddwa ku lukomera. Obusembayo “Obwakabaka bwa baruumi”, obubaddewo okuvira ddala mu mwaka 30 B.C., okusinzira ku bunnabbi bwa Baibuli bulina okufuga ensi eno omulundi omulala nate ku nkomerero ye kiseera, kubanga bwe kityo bwe kyawandiikibwa: “Ensolo ey'okuna eriba bwakabaka obw'okuna mu nsi obutalifaanana ng'obwakabaka bwonna, era obulirya ensi zonna, era obulizisambirira, era obulizimenyaamenya.” (Danyeri 7:23).

Enkulankulana kakaano, wadde n'okutakabanira eddembe okugenda mu maaso, kw'ayogerwako mu bunnabbi obw'endagaano enkadde n'empya. Omutume Pawulo yalaba embeera bweri kakaano ku mitendera gyonna mu kulaba ebiribeerawo mu kwolesebwa era nawandiika wansi emyaka nga 2,000 bye tulu kulaba kakaano n'amaaso gaffe gennyini, “Kubanga mwekka mumanyidde ddala ng'olunaku lwa Mukama waffe lujja ng'omubbi ekiro bwe lutyo. Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono.” (1 Abasessaloniika 5:2-3). Ekigambo ekikulu “Mirembe” mu kwegatta “n'obukumi” nga bwe yakola mu mwezi gw'ekkumi 27, 1986, Papa yayongezayo okwanirizibwa kw'abakulembeze ekkumi n'ababiri ab'ensikkiriza ezisinga mu nsi okumwegattako mu mwezi gw'olubereberye 24, 2002, mu lukunggana lw'emirembe mu Assisi, Italy. Ekyabateekebwako nti enzikkiriza zibadde zivunanyizibwa ku ntalo mu myaka egyayita kyebava balangirira nti enzikkiriza zonna kakaano zelayirire okulwanyisa entalo n'obwa nalukalala era ne kulw'emirembe n'obwekanya ku nsi.

Okuva Mikhail Gorbatchev yajja mu buyinza mu mwaka 1985, “Olutalo lw'ebigambo” lwa komekerezebwa era enkunggana z'emirembe z'ategeekebwa emirundi mingi. Mu butuufu, »olukunggana« lwakola ebyafayo ne buvamu »okugonjola obutakwatagana« wakati w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba era nekusobozesa okugattibwa kwa Germany okutuukibwako era n'okwefuga kw'amawanga gwonna agaali ga kyali amatwale ga Soviet. Abakulembeze be by'obufuzi bwe basinga okukwatibwako ku kino ekyayogerwa »Mirembe n'obukumi«. Ebintu bwe biti bye bimu ebikozesebwa kakaano mu kwegatta ku nkulankulana mu makati g'ebuvanjuba. Isiraeri yeyongedde era yeyongeredde ddala okufuuka ensonga ey'okwogerwako mu by'obufuzi bw'ensi yonna. Okusingira ddala Yerusaleemi eribeera »okuzitowera amayinja amalala« eri amawanga gonna agetoolodde, nga nnabbi Zeffaniya bye yayogera (esula 12).

Amawulire bwe gogeera ku bikwata ku bin Laden, Mullah Omar, Tora Bora, Afghanistan, era al khaida ediridde emabega. Ekiyinza okukolebwa okugonjola “ekizibu ekinene” gulibeera mulimu ku mukono. Nga bwe kya yogerwa mu byawandiikibwa by'obunnabbi, wajja kubeerawo emirembe egilangiriddwa. Eky'omukisa omubbi, wadde nga Isiraeri eggwanga etono liwayo ekiweebwayo “ensi y'emirembe” newakubadde nga amawanga ge buwarabu gali 640 obunene okusingako Isiraeri, oluvannyuma lw'okukiriziganya kungi okwatuukibwako era n'obukubagano mu banabyabufuzi, nga kye kyoka ekiribeera ekimulisa ky'emirembe, n'omukisa okuva mu b'obuyinza aba waggulu ab'enzikkiriza. Nga bwe kyawandiikibwa, nti ekyo kye kiriba ekiseera okusanyizibwawo bwe kuli butikire abantu. Ekiseera kiri kumpi, kyetuva twetaga okulungamizibwa okuva waggulu.

Ensuula eddako